2 Kings 11

Asaliya ne Yekoyaasi

1 aAwo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba mutabani we ng’afudde, n’atandika okusaanyaawo olulyo olulangira lwonna. 2 bNaye omumbejja Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n’abba Yekoyaasi
Yekoyaasi yali tannaweza mwaka gumu, nga n’okuggibwa ku mabeere tannaggibwako (lunny 31; 12:1)
n’amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’abateeka ye n’omukuza we mu kisenge ekimu ng’abakweka Asaliya, era Yekoyaasi n’atattibwa.
3N’abeera mu yeekaalu ya Mukama n’omukuza we okumala emyaka mukaaga, Asaliya nga y’afuga ensi.

4 dMu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’atumya abaduumizi ab’ebibinja by’ekikumi, ab’oku Bakali n’abakuumi, ne babaleeta gy’ali mu yeekaalu ya Mukama. N’alagaana nabo endagaano, n’abalayiriza mu yeekaalu ya Mukama, n’oluvannyuma n’abalaga mutabani wa kabaka. 5 eN’abawa ebiragiro bino nti, “Kino kye muteekwa okukola: kimu kya kusatu ku kibinja ekikuuma ku ssabbiiti, kye kinaakuumanga olubiri lwa kabaka, 6n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma Omulyango Suuli, n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma emanju w’omulyango ewabeera abakuumi abakuuma yeekaalu mu mpalo; 7n’ebibiina byammwe ebibiri ebitatera kukuuma ku ssabbiiti, mwenna mugenda kuvunaanyizibwa okukuuma yeekaalu ya Mukama ku lwa kabaka. 8Era muneetooloola kabaka enjuuyi zonna, buli muntu ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, ne buli anaŋŋaanga okubasemberera attibwe. Mukuumenga kabaka butiribiri, bw’anaafulumanga ne bw’anaayingiranga.”

9Abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi ne bakola byonna nga Yekoyaada kabona bwe yalagira, buli omu n’afuna abasajja be, abaali ab’okukola ku ssabbiiti, n’abaali bamaze oluwalo lwabwe, ne bajja eri Yekoyaada kabona. 10 fKabona n’awa abaduumizi amafumu n’engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, 11buli mukuumi n’ayimirira n’ebyokulwanyisa bye nga beetoolodde kabaka enjuuyi zonna, okuliraana ekyoto ne yeekaalu okuva ku luuyi olw’obukiikaddyo okutuuka ku luuyi olw’obukiikakkono.

12 gAwo Yekoyaada n’afulumya mutabani wa kabaka, n’amutikkira engule, n’amuwa n’endagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. N’afukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!” 13Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abakuumi n’olw’abantu, n’alaga eri abantu ku yeekaalu ya Mukama. 14 hBwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ng’empisa bwe yabanga, n’abaami n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, n’abantu bonna ab’omu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”

15 iAmangwago Yekoyaada kabona n’alagira abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, abaali bakulira eggye nti, “Mumufulumye wakati w’ennyiriri, na buli amugoberera mumutte n’ekitala.” Kabona yali agambye nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 16 jNe bakwata Asaliya, ng’anaatera okuyita mu mulyango gw’embalaasi w’eziyingira mu luggya lw’olubiri, ne bamuttira awo.

17 kAwo Yekoyaada n’akola endagaano ne Mukama, ne kabaka n’abantu, nti banaabeera abantu ba Mukama, era n’akola n’endagaano ne kabaka n’abantu. 18 lAbantu bonna ab’omu nsi ne bagenda ku ssabo lya Baali ne balimenyaamenya; ne bamenyaamenya ebyoto n’ebifaananyi, era ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto ebyo.

Yekoyaada kabona n’ateekawo abakuumi ku yeekaalu ya Mukama.
19 mAwo n’alaga n’abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, n’Abakali, n’abakuumi, n’abantu bonna ab’omu nsi ku yeekaalu, n’aggyayo kabaka mu yeekaalu ya Mukama n’amutwala mu lubiri ng’ayita mu mulyango ogw’abakuumi. Kabaka n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka, 20 nabantu bonna ab’omu nsi ne bajaguza, n’ekibuga n’ekitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala okumpi n’olubiri.

21Yekoyaasi yali aweza emyaka musanvu bwe yatandika okufuga.

2 Kings 12

Yekoyaasi Addaabiriza Yeekaalu

1 oMu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya ow’e Beeruseba, n’atandika okuba kabaka, n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi. 2Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga. 3 pWabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, n’abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.

4 qAwo Yekoyaasi n’agamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ng’ebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya Mukama, ensimbi ez’omusolo buli muntu z’awaayo, n’ensimbi buli muntu z’awaayo ng’endobolo mu yeekaalu, n’ensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, n’azireeta mu yeekaalu ya Mukama, 5n’oluvannyuma buli kabona addire ezo z’akuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.”

6Naye oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri mu esatu egy’obufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu. 7Awo kabaka Yekoyaasi
Mu kiseera kino Yekoyaasi yali wa myaka amakumi asatu
n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, n’ababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olw’okuddaabiriza yeekaalu.”
8Bakabona ne bakkiriziganya obutaddayo kukuŋŋaanya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuvunaanyizibwa okuddaabiriza yeekaalu.

9 sYekoyaada kabona asinga obukulu n’addira essanduuko n’awumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n’agiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi n’ekyoto okuliraana n’awayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama. 10 tAwo bwe baalabanga ng’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala n’okuzitereka. 11N’oluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, n’abazimbi abaabulijjo, n’abazimbi b’amayinja, n’abatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 12 uAte era ku ezo ensimbi kwe baagulanga embaawo, n’amayinja amabajje okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama n’olwebirala ebyetaagisanga mu kuddaabiriza okwo.

13 vEnsimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama; 14kubanga baazisasulanga abakozi abaali baddaabiriza yeekaalu. 15 wEra kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa. 16 xEnsimbi ezaavanga mu biweebwayo eby’okulumiriza n’ebiweebwayo olw’ekibi tezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama, zaabanga za bakabona.

17 yMu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi. 18 zNaye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya Mukama n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi.

19Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20 aaAbaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro. 21Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. N’afa n’aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n’amusikira.

Copyright information for LugEEEE